Obwakabaka bwa Buganda bwongedde okuwabula abaluηamya b’emikolo okukitegeera nti yonna gyebaweerereza kibakakatako okutambulira mu nnono n’obuwangwa bwa Buganda nga bwebulambika.
Bwabadde aggalawo Ttabamiruka w’abaluηamya mu Bulange e Mmengo, minisita w’Obuwangwa n’ennono Owek. Dr. Anthony Wamala mu bubaka bwatisse minister w’Amawulire Owek. Israel Kazibwe Kitooke abasabye okukkaatiriza obukulu bw’obuwanga bwa Buganda mu mikolo naddala ogw’okwanjulwa/Okwanjula.
Anokoddeyo ensonga abaluηamya zebasaanye okussaako essira okuli;
okulambika abazadde b’abalenzi bebatwala mu mikolo gy’okwanjulwa okukomya enkola y’okuwerekera abaana baabwe kubanga kikontana n’ennono ya Buganda.
Abaluηamya naddala abaaniriza abako okwekomako ku nsonga z’okubiibiza ku mikolo, baggumire mu kitiibwa kya Taata.

Mu ngeri yeemu minisita awabudde nti kisaanye kikomezebwe eky’okufulumyanga omugole omukyala ng’omulenzi tannazaalibwa mu nju kubanga nakyo sikyannono za Buganda.

Asabye abaluηamya okubeera olutindo n’omukutu gw’amawulire agafa embuga eri abantu ba Kabaka kubanga bbo balina engeri ennyangu gyebagafunamu, kale nga basaale nnyo mu kugabunyisa.
Abasabye okuwabula abakola emikolo okukola egigya mu busobozi bwabwe baleme okwekaniikirira ku gy’ebbeeyi gyebatayinza.

Ssenkulu wa Majestic Brands Omuk. Remmie Kisaakye mu bubaka bwatisse Moses Kakande yebazizza abaluηamya olw’enkolagana ennungi n’okubeera bakitunzi abakulu aba Certificates za Buganda n’ebifaananyi ebitongole era abakize ku bannaabwe mu nsonga eno basiimiddwa nga baweebwa ebbaluwa.

Ssentebe w’abaluηamya b’emikolo Ismael Kajja ategeezezza nti bakyalina okusoomoozebwa kw’abakola emikolo abagaana Obulombolombo obumu naddala okulya emmwanyi (Akatta-mukago) nga bawanuuza nti bya sitaani!
Kajja asabye nti abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo basaana okutegeezebwanga ku mikolo egikolerwa mu bitundu byabwe basobole okugirondoola obulungi.
Mu ngeri yeemu Kajja asabye abaluηamya okusomesa abantu obukulu obuli mu Bbaluwa entonge ey’e Mmengo gyagambye nti kati yeemu ku byetaago bya NIRA okuwandiisa obufumbo.

Abakulira ebitongole eby’enjawulo eby’enjawulo ku lukiiko lw’Abaluηamya basomye alipoota z’ebitongole byabwe okuli n’abatabuzi b’emiziki (Mikolo Selectors) abasabye nabo baweebwe omwagaanya nti kubanga bekozeemu omulimu era bakyusizza bingi ebyali biboogerwako.













