Katikiro we Kika ky’Emmamba Omutaka Kyomubbazi Kabelenge Gerald asabye abazzukulu okwenyigira mu nteekateeka zonna ezikoleddwa okutereka Gabunga owa 37 Omutaka Mubiru Zziikwa IV, n’okutuuza Gabunga omubbulukuse Mubiru Zziikwa V.
Okusabira Omutaka Mubiru Zziikwa IV leero ku ssaawa ttaano nga 26 November,2024 e Jjungo ku lwe Nakawuka, era nga ekanisa eno Omutaka Gabunga yeyawaayo ettaka kwetudde.
Okusaba nga kuwedde Omutaka wakutwalibwa essagala Busirike ewali e kibira mwagenda okuterekebwa.
Gabunga omubuze wakuterekebwa nga 27 November,2024.
So nga n’emikolo gy’okutuuza Omutaka omubbulukuse Mubiru Ziikwa owokutaano, najo gijjakuba gigenda mu maaso era gisuubiirwa okutandiika ku saawa 4 ezokumakya nga 27 November,2024, gyakukolebwa mu kifo Siryamawolu.#













