Amasiga n’Abeemituba egyetuukira ku Kasolya mu Kika ky’Emmamba Nnamakaka, banjudde embuga Ekiraamo ky’Omutaka Omubuze Gabunga Mubiru Zziikwa owa 37.
Ekiraamo kino Gabunga Omubuze Mubiru Zziikwa yakiwandiika mu September, 2023 era nga Kisomeddwa Katikkiro.
Yalaamira Mutabaniwe Ali Mubiru Zziikwa amuddire mu bigere, era ng’ono waakulagibwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku monday ya wiiki ejja nga 25 November,2024.

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga bw’abadde ayanjulirwa ekiraamo kino, asabye bazzukuu ba Buganda okussa ekitiibwa mu Nnono, kuba ky’Ekitiibwa ky’Obwakabaka.
Katikkiro ategeezezza nti Ennono ya Buganda teriimu bwa Kirwanire wadde okwesooka.

Katikkiro asabye bazzukuu ba Gabunga Okwagala ennyo Ekika kyabwe n’okukiwagira mu buli nteekateeka, nga batwala obuvunaanyizibwa okumanya amaanyi gaakyo.
Minister w’Obuwangwa n’Ennono ssaako Embiri n’Ebyokwerinda Owek Dr Anthony Wamala, alaze obululu bwokuteeka ebyafaayo by’Ebika mu Bwiino kiyambeko abazzukulu obutasika Mugwa.
Bisakiddwa: Kato Denis













