Libadde ssanyu ssa, ku Mbuga ye Ssaza Mawokota e Butoolo mu Gombolola mumyuuka Kamengo ng’omwami wa Kabaka owe Ssaza Kayima Sarah Nanono Kaweesi atuuzibwa nabamyukabe.
Omukolo gw’okutuuza Kayima gukulembeddwamu Katikkiro wa Buganda akiikiriddwa Minister wa Kabineeti n’abagenyi Owekitibwa Noah Kiyimba, ng’ayambibwaako Minister wa Gavumenti ez’ebitundu Owekitiibwa Joseph Kawuki.

Kayima Sarah Nannono Kaweesi atuuziddwa mubutongole nabamyulabe okuli Hajji Hassan Kagga ne Mujjuzi Pizaro.
Katikiro Charles Peter Mayiga mu bubaka bwatisse Owek.Naoh Kiyimba, asabye abantu mu Buganda okukoma okwekubagiza n’okukulembeza ebibasoomooza wabula bakole nnyo okubimalawo bewale okulinda abantu abalala okubamalira ebizibu.
Mungeri yemu Kamala Byonna asabye abantu mu Buganda obutabuzabuzibwa neebyo ebitekebwa ku mitimbagano bagoberere emikutu emitongole egyobwakabaka okufuna Amawulire agafa embuga.

Minister wa Gavumenti ez’ebitundu Owek.Joseph Kawuki, asabye Kayima Sarah Nannono Kaweesi, okunyweeza Obumu mu bantu bakabaka n’okugoberera ennambika ey’obwakaba entongole mu buwereza.
Kayima Sarah Nanono Kaweesi yeyanzizza nnyo Ssabasajja Kabaka olw’okusiima amuweereze, neyeyama okukolagana nabantu bonna okutuukiriza emirimu gya Kabaka.

Omukolo gwetabiddwako Abataka abakulu ab’Obusolya okubadde Omutaka Muteesaasira, Omutaka Nsamba, Abaami b’Amasaza, Ababaka baparliament ab’ekitundu n’abakulembeze ku mitenderera egyenjawulo.
Bisakiddwa; Ssebuliba Julius













