Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abakulu n’Abaweereza mu Buganda Land Board okunyweeza Omutindo gw’Obuweereza eri abantu ba Kabaka, okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa.
Katikkiro abadde asisinkanye abaweereza mu Buganda Land Board mu nkola y’Okulambula ebitongole by’Obwakabaka n’Okujagulizaako BLB okuweza emyaka 30 ng’eweereza abantu ba Ssemunywa, nga bino bibadde mu Masengere.
Katikkiro ategeezezza nti Obuweereza mu Buganda Land Board butambulira butereevu ku ssemasonga namba 3 ey’Okukuuma Ettaka, naasaba ettaka ly’Obwakabaka neerya Ssaabasajja eriri mu bulabe olw’Abasatuusi litaasibwe.
Katikkiro mungeri yeemu asabye abaweereza mu BLB okukozesa Obukugu obumala bawulirize be baweereza, era babawe Obudde obumala.
Mungeri eyenjawulo Mukuumaddamula yebazizza government olw’Okuzuula ebirungi ebiri mu bantu okwewandiisa ku ttaka n’Okufunirako ebyaapa mu mateeka, kyagambye nti kyakuyamba abantu ba Kabaka okufunirako ensimbi okwekulaakulanya.
Minister avunaanyizibwa ku Ttaka n’Ebizimbe Owek David F.K Mpanga , asabye abaweereza mu Buganda Land Board okukolera wansi w’Amateeka, n’Okulaba nga baweesa ekitongole kya Beene ekitiibwa.
Bisakiddwa: Kato Denis