Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza CBS olw’okukulemberamu entegeka y’okubunyisa obubaka obuva embuga okubutuusa ku bantu okwetoloola ensi yonna, ng’ate buli mu lulimi Oluganda.
Katikkiro abadde alambula abakozi mu CBS FM mu wofiisi zabwe, era ng’alambudde emu kwemu nga bw’ababuzaako n’okwongera okumanya amannya gabwe n’ebibakwatako ebirala n’okubongera essuubi mu byonna byebakola.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abaweereza ku Radio ya Ssaabasajja Kabaka CBS okubeera abesimbu ku Mirimu gyabwe, olwo lwebagenda okugiganyulwa mu.
Agambye nti okuweerereza mu bwesimbu n’Omukwano eri Obwakabaka ne Uganda yonna kiyambako Radio ya Ssemunywa okwongera okuggumira mu Bantu, neyeebaza abaddukanya Radio eno.
Katikkiro asabye abaweereza Okukola Okunoonyereza Okumala nga tebannagenda ku Mpewo, n’okwongera okutuusa ku bantu obubaka obubawa essuubi n’okubakulaakulanya.
Mungeri eyenjawulo abawadde amagezi okussa ensimbi mu bintu ebirala ebizaala ensimbi bekulaakulanye, baziyize okusabiriza kati nga bakyalina amaanyi n’ebwebaliba bawummudde.
Abawadde eky’okulabirako eky’okulima emmwanyi , nti kubanga kisoboka bulungi okuzirima ate nga bwebaweereza ne ku CBS byonna nebitambulira wamu.
Minister w’Ebyamawulire ,Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke ajjukizza abaweereza bw’Obwakabaa bonna obuteerabira kutaasa Namulondo mu ngeri zonna.
Ssenkulu wa Radio ya Ssaabasajja Kabaka CBS ,yeebazizza Katikkiro ne government ya Ssaabasajja yonna ,olwa kaweefube yenna ayambyeeko okutuusa enkulaakulana mu Radio eno kati emyaka 28.