Kyabazinga William Gabula Nadiope IV yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, olw’obutamusuulirira mu nteekateeka ez’enjawulo omuli n’okumulambika bweyali agenda okuwasa Inebantu, n’okutuula kaakano.
Kyabazinga obubaka buno abutisse Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, abadde akyaddeko mu Lubiri lwa Kyabazinga e Igenge – Bugembe mu Busoga.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayig yebazizza Obwakyabazinga bwa Busoga olw’Enkolagana ennungi gyebulina n’Obwakabaka bwa Buganda, etadde ettoffaali ku nkulaakulana ya Uganda eyawamu.
Katikkiro agambye nti Buganda ne Busoga balina okukolera awamu okusitula enkulaakulana y’Abavubuka , nga bayita mu Kutumbula ebyobuwangwa, ebyenjigiriza , Ebyobulamu n’Ebyemizannyo.
Katikkiro mungeri yeemu akuutidde abavubuka mu Buganda ne Busoga obuteerabira byafaayo bya Buganda ne Busoga mu Kutumbula Obumu.
Katikkiro atonedde Kyabazinga ebitabo ng’ekirabo ky’okumukulisa okutuuka ku bufumbo obutukuvu.
Ebitabo bino; okuli Uganda Seven key transformation Idea n’ekitabo ekirala Work and Prosper, byawandiikibwa Katikkiro yennyini.
Katuukiro wa Busoga Joseph Muvawala ,yeebazizza abakulembeze b’Obwakabaka ku mitendera gyonna olwenkola y’Emirimu gya Ssaabasajja eweesa ekitiibwa, Omuli n’Okukumaakuma abavubuka ba Nkobazambogo mu masomero n’Amatendekero agawaggulu.
Ekiro Kya leero Bannankobazambogo ku ttendekero lya Kampala University Jinja wamu n’Amatendekero amalala, baakusula ku Kyoto okumanyisibwa Ennono n’Obuwangwa bwa Buganda, nga Owek Rashid Lukwago yagenda okukulemberamu entekateeka ezo.
Katikkiro mu lugendo luno lw’agenda okumalako ennaku 3, awerekeddwamu minister w’Abavubuka ebyemizannyo n’Ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga,Owek Hassan Kiyimba, abakulembeze b’Abavubuka mu bibiina by’Obwakabaka byonna, nabalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis