Omukulu w’Ekika ky’Empologoma Omubuze Omutaka Namuguzi Ssebuganda Wilson Ndawula aterekeddwa mu kibira ku butaka bw’Ekika e Lwadda.
Aterekeddwa mu mbugo 168.
Ye Ssebuganda Namuguzi owa 34.
Ssaabasajja Kabaka asiimye emirimu egikoleddwa Omutaka Ndawula mu kutuukiriza obuvunanyizibwa mu Bwakabaka, ate n’Obukulembeze obulungi mu Kika, era yeebazizza Katonda olw’obulamu bw’amuwadde.
Obubaka bwa Kabaka busomeddwa Owek. Dr. Anthony Wamala Minister w’Obuwangwa n’Ennono Embiri Amasiro Obulambuzi n’Ebyokwerinda.#