Kooti enkulu e Masaka etandise okuwulira okusaba okwatekebwayo bannamateeka b’abavunaanibwa ku misango gy’okwokya essomero lya St. Bernards SS Mannya mu district ye Rakai, nga abavunanibwa bagala Kooti esazeemu emisango gyonna egyabateekebwako era ebayimbule okuva mu kkomera.
Mu lutuula lwa Kooti ebadde ekubyeko obugule, bannamateeka b’abavunaanibwa nga bakulembeddwamu Sam Ssekyewa, banokoddeyo ensonga 3 mu mpoza yabwe, nti abaali abayizi mu ssomero eryo okuli Taremwa Henry, Mugarura Alex Junior ne Kisuule Dickson, baali bakyali baana bato mu kiseera webabakwatira.
Ensonga endala; nti abavuvaanibwa bonna baakuumibwa mu kaduukulu ka Police okumala ekiseera ekiwanvu nga tebaleeteddwa amu kooti. Baganba nti baakumibwa mu kaduukulu okuva nga 11 November,2018 lwe baakwatibwa okutuusa nga 27.11.2018 we baleetebwa mu kooti.
Munnamateeka Sam Ssekyewa ategezezza omulamuzi nti kimenya Ssemateeka w’eggwanga okuba nti abavunaanibwa baasibibwa okusukka essaawa 48 ezirambikiddwa mu mateeka nga tebaleeteddwa mu kooti.
Ensonga eyokusatu kwe kuba ng’abavunanibwa baakamala mu kkomera emyaka 5 n’emyezi 7 nga tebawozesebwa, munnamateeka w’abavunanibwa ategezezza Kooti nti kirinyirira eddembe lyabwe okuwozesebwa mu budde.
Omuwabi wa government Noah Kunya asabye Kooti emuweeyo obudde asobole okuteekamu okwewozako lw’oludda oluwaabi, n’omulamuzi kyakkirizza.
Omulamazi wa Kooti enkulu Victoria Nakintu Katamba asuubizza okuwa ensala ye ku kusaba kuno, bwanaaba amalirizza okuwulira enjuyi zombi mu bbanga ekitali ggere.
Abaana 9 bebaafiira amu muliro ogwakwata essomero lya St.Benard SS Mannya.
Bisakiddwa: Tomusange Kayinja