Akulira akakiiko akavunayizibwa ku bamusiga ensimbi aka State House Investors Protection Unit Col. Edith Nakalema asisinkanye abakulu mu kitongole ekikwanaganya ensonga z’abasuubuzi ki Uganda National Chamber of Commerce and Industry okusala amagezi ku ngeri gyebanaamalawo abeyita bamusiga nsimbi so nga bafera ggwanga.
Waliwo abasuubuzi abawerako abaddukidde eri akakiko ka Col. Edith Nakalema nebamulopera abagambibwa okubeera bamusiga ensimbi abajja mu Uganda, ate ne bava ku mulwamwa ogubasuubirwamu, ne bafundikira nga benyigidde mu mirimu egyandikoleddwa bannauganda omuli n’obutembeeyi.
Ensisinkako eno etudde ku office za State House Investors protection Unit e Nakasero mu Kampala, ekitongole kya National Chambers of Commerce and Industry kibadde kikulembeddwamu senkulu wakyo Olive Kigongo.
Col Nakalema agambye nti bawandiikidde minister wobutebenkevu Maj.Gen Jim Muhwezi ne bitongole byokwerinda ebirala okuyingira mu ensonga eno nga bukyali.
Col Nakalema ategezeza nti bamusiga ensimbi abaggya mu Uganda ate ne badda mukukola emirimu egyandikoleddwa bannansi,ne batuuka n’okutembeeya beraliikiriza ate era bayinza okuba abobulabe eri ebyokwerinda by’e ggwanga.
Akulira Uganda National Chamber of Commerce and Industry, Olive kigongo asabye government ekome ne ku abantu abefunyiridde okuzimba amakolero mu ntobazi nga berimbika mu nkulaakana nti kikyamu basanyaawo butonde bwansi.#