Gen.Muhoozi Kainerugaba alangiriddwa ng’Omuduumizi w’eggye ly’eggwanga erya UPDF.
Gen.Muhoozi abadde omuwi w’amagezi ku nsonga z’ebyokwerinda eri president Museven era nga ye kitaawe, azze mu bigere bya Gen.Wilson Mbasu Mbadi alondeddwa ku kifo kya minister omubeezi ow’eby’obusuubuzi n’obwegassi.
Gen.Muhoozi ye ssentebe w’ekisinde ky’ebyobufuzi ekya Patriotic League of Uganda ekyasooka okuyitibwa MK Movement.