Akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu district ye Wakiso kasazeewo okuwandiikira ekitongole kya government ekirondoola obutonde bw’ensi aka National Environment Management Authority NEMA wamu n’ebitongole bya government ebiwa olukusa kkampuni ezikuba amayinja mu ggwanga, baddemu bekennenye amateeka g’obutonde bw’ensi.
Ezimu ku nsonga akakiiko zekatunulidde y’ensonga y’abantu abakosebwa ejinja erikubibwa mu kitundu, nga bagamba nti wadde NEMA yakkiriza okukuba amayinja wakiri mu buwanvu bwa kilometre 200, nti naye nabali mu metre 500 nabo bakosebwa.
Akakiiko kano okutuuka okuvaayo kiddiridde abatuuze ku byalo 3 okuli Busawuli , Buteregga ne Bumera mu ggombolola ye Mende mu district ye Wakiso, okwekubira omulanga mu kakiiko nga balumirizza kkampuni yaba China ekuba amayinja mu kitundu eya King Long gyebaganba nti eviiriddeko ennyumba zabwe okuggwamu, abakyala okuvaamu embuto n’enddwadde eziva ku lufufugge oluva ku mayinja.
Ssentebe wakakiiko keddembe lyobuntu mu wakiso Elly Kasirye agamba nti esira kati bagenda kuliteeka kubitongole bya govt wamu nabakulembeze abaawa olukusa kkampuni eno okukola emirimu mukitundu nga tebasoose kutunulira bulamu bwa bannansi.
Abakulembeze mu kitundu okuli ssentebe w’eggombolola ye Mende Ntume Peter ne ssentebe wa L C 1 eye Busawuli Kawaga Edward bagamba nti abatuuze balemeddwa okukwatira awamu basobole okuggusa obulungi ensonga, nga bangi kubbo basaba ssente nnyingi ez’okubaliyirira okuva mu kkampuni yaba china ekibaviirako okubeetolooza ebbanga eddene .
CBS FM EMMANDUSO mukwogerako nabakulu abadukanya kkampuni eno eya King Long , ssenkulu wayo amanyiddwako erya Tanga agamba nti newankubadde nga waliwo ebisomooza naye bakola butaweera okulaba ng’ensonga bazitereeza, era nategeeza nti nabo ng’aba kampuni balina nabo byebakoledde ekitundu wadde ng’abatuuze abamu babakanda ensimbi empitirivu.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo