Kooti ensukkulumu mu ggwanga eyongedde okukinogaanya nti ebintu byonna government byeyaddiza Obwakabaka bwa Buganda byayita mu makubo matuufu.
Ensala eyakasembayo yey’Omusango ogwawabwa omulangira Kalemeera Harold Kimera , mweyawawabira Kabaka ne Ssaabawolereza wa government eya wakati, ng’awakanya ebintu ebimu engeri gyebyaddizibwa Obwakabaka.
Omulangira Kalemeera yaloopa mu 2020 ng’awakanya etteeka eryakolebwa mu 1993, omwasinziirwa okuddiza Buganda n’obukulembeze obw’ensikirano obulala ebintu byabwo, ebyali byatwalibwa government eya wakati.
Mu mpaaba y’Omulangira Kalemeera abadde agamba nti ennyanja ya Kabaka yiye bwooya,n’amasiro ge Bumera nti ettaka kwegali nalyo lirye nti kubanga ye muzzukulu wa Ssekabaka Daudi Chwa.
Omulangira Kalemeera abadde ayagala Kabaka amuliyirire obukadde bwa dollar 60 eza America, kwossa okumuwa ennyanja ya Kabaka.
Banna Mateeka okuva mu Royal Law Chambers ,KK Advocates nebanna mateeka b’ekitongole kya Buganda Landboard nga bakulembeddwamu Ssaabawolereza w’Obwakabaka bwa Buganda owek Christopher Bwanika berayiridde nti tebagenda kuddamu kukkiriza banakigwanyizi kuzanyira ku kitiibwa kya Nnamulondo.
Ssaabawolereza wa Buganda agamba nti waliwo bannakigwanyizi abagenda bajweteka ebisangosango ku Bwakabaka.
Munna mateeka Ssebuufu Usama okuva mu kitongole ky’amateeka ekya KK Advocates abakulembedemu okuwoza omusango guno kulwa Kabaka agambye nti bagala buli muntu awawabira obwakabaka, nti musango bwegumusinga aliwe bulindo nabulindo bwansimbi abantu bamanye webakoma.
Munna mateeka w’ekitongole kya Buganda Landbord nga naye abadde musaale mu musango guno Denis Bugaya alabudde abantu okukomya okuyingiza Kabaka mu nsonga ez’okusaagirira.
Kkooti eragidde Omulangira Kalemeera aliyirire Kabaka ne Government ey’awakati ensimbi zonna ezisaasaanyiziddwa mu musango guno.#
Bisakiddwa: Lukenge Sharif ne Kamulegeya Achileo K.