Omuyimbi era abadde munnakibiina kya FDC Adam Mulwana avudde mu bulamu bwensi.
Adam Mulwana yamanyibwa nyo bweyayimba akayimba ka Toka kwa bbala bbala Besigye Anayingiya, Besigye songa songa mbere akaasuuta Col Kizza Besigye eya yesimbyewo ku bwa president bwa Uganda mu kalulu ka 2016.
Adam Mulwana abadde amaze emyaka ejikunukiriza 2 nga tava kundiri, nga kigambibwa nti yawebwa obutwa.
Yusuf Nsibambi omubaka wa Mawokota South agambye nti Mulwana abadde n’ekitone ekyenjawulo era kyeyakozesa ennyo okunoonyeza ekibiina kya FDC akalulu mu kiseera ekyali ekitono.
Asuman Ssemakula ng’ono yeyatwala Adam Mulwana ewa Besigye agambye nti Adam Mulwana agenda kuziikibwa e Buziranduulu Luweero mu ssaza Bulemeezi.#
Bisakiddwa: Lukenge Sharif