Omutendera Kinyoolankoto mu program Entanda ya Buganda gutandise na maanyi ku CBS FM 88.8, abamegganyi entuuyo obwedda bazisaza bibatu.
Abamegganyi Kiberu Kizito Kamya eyafunye obugoba 28 ne Sserwadda Samuel eyafunye obugoba 18 baayiseewo okwesogga olumeggana oluddirira olusembayo, ate Ssempijja Nyansio eyafunye obugoba 12 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda nga 06.11.2023
1. Mpa omuzizo gumu omukulu oguli wakati w’Omulangira asikira empewo z’Obwakabaka ne Ssaabasajja – Tebaddamu kulabagana
2. Enjawulo wakati w’ennyumba Musooliini ne busitoowa – Ennyumba eya musooliini eserekebwa ng’eyiwa ku luuyi lumu ate busitoowa eyiwa ku njuyi bbiri mu maaso n’emabega
3. Amakulu agali mu kisoko, Okutega mu kyole – Okubeera awantu woosuubira ebintu ebingi
4. Ani yawandiika ekitabo Gwolulambuza – Kivumbi Bantubalamu
5. Bakuseera takwazikwa, lugero, luyigirizaaki? – Lutuyigiriza okubeera abeegendereza ku magezi agatuweebwa bannaffe
6. Ekika ekirina eryato omwaleeterwanga amakula agaaleeterwanga Kabaka okuva e Kyaggwe, kika ki ekirina eryato eryo? – Njaza
7. Mpa amannya ga Nnamasole wa Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II eyasooka – Sarah Kisosonkole
8. Obubonero bubiri kwomanyira ekinyonyi ekirya ennyama – Omumwa gwakyo gubaako eddobo n’enjala z’ebigere byakyo ziba n’eddobo
9. Amannya g’Omulangira asikira empewo z’Obwakaba zonna? – Omulangira Juma Kateebe/Katebe
10. Enjawulo wakati w’enju y’ensiisira n’ekiteeteeyi – Ensiisira yonna eba ebunye essubi ate ekiteeteeyi ebaako essubi waggulu kyokka nga wansi nkube obudongo
11. Okusigala mu malye kisoko kitegeeza ki? – Okusigala mu buzibu nga tolina ayamba
12. Tokiiya ngonge nto, kitabo ani yakiwandiika? – Robert G Mukasa
13. Gwowonya eggere, olugero olwo lutuyigiriza ki? – Lutuyigiriza okubeera abeegendereza eri abo betuyamba
14. Waliwo ente ya Kabaka eyitibwa Mbulidde, kika ki ekirunda ente eyo? – Mpindi
15. Amannya ga Ssaabaganzi w’omulembe guno? – Ssaalongo Emmanuel Ssekitooleko
16. Lwaki embaata esobola okuwuga ate ng’enkoko tesobola? – Ebigere byayo ebibyabyatavu bigiyamba okukuba amazzi
17. Omulangira asikira empewo zonna ez’Obwakabaka omutuba gwe guli Kibanga, gusangibwa mu ssaza ki? – Bulemeezi
18. Enjawulo mu bigambo ng’ekyokuddamu okyesigamizza ku nnyumba> Ekifulukwa n’Omusekese – Ekifulukwa y’ennyumba eyavaamu abantu ate omusekese eba tennaserekwa
19. Okugalinnya gyegava,kisoko kitegeeza ki? – Okwereetera ebizibu
20. Ani yawandiika ekitabo Amaggwa n’emitego mu buvubuka? – Ruth Kaboggoza (Najjuuko)
21. Mmaali yatokomoka agula magi nansuwa, lugero lutuyigirizaaki? – Tusaana okuba abeegendereza nga tusalawo kyetuba tugenda okukola
22. Ab’eddira effumbe mu mubala gwabwe mulimu ekisoko. Kakozaakoza…. Kaba kaki? – Oluwombo
23. Nnamasole wa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aliko kati? – Owek Nantongo Damalie Muganzi
24. Akabonero akamu kwoyinza okumanyira ekinyonyi ekirya ebibala -Kirina omumwa musongovu nga muwanvu
25. Mpaayo ensonga bbiri ez’ennono ezireetera omuti ogw’omutuba okuba ekyobuwangwa eri Omuganda ng’ojjeeko eky’okujjako enku? – Guyimbulwako olubugo era n’okubajjamu amaato
26. Edda waabeerangawo abantu abaayitibwa nga abatete, baakolanga mulimu ki? – Baalinga bakuumi babaka Beene
27. Omuzizo omukulu gumu ogudda ku kukoola entungo – Tebakooza nkumbi
28. Wambwa ayiggira agage n’agamukamaawe. Gaba maki? – Amaddu
29. Okujjula ebitayidde kitegeeza ki? – Okupapira ekintu nga kibadde tekinnatuuka
30. Olugero: Byakuno – Tasenguka agoba baggya
31. Ebizibu bibiri ebireetebwa obuveera nga bidda eri obutonde bwensi – Bulemesa amazzi okuyingira mu ttaka ate tekavunda olwo nebutakola ttaka
32. Bwebaba batunda ekintu naddala nga kikadde wabeerawo omujulizi, aweebwa linnya ki? – Ngobolo
33. Enkejje zebayita ez’emazinga, lwaki baziyita batyo? – Kubanga zijjibwa mu bizinga by’e ssese
34. Olugero: Emitawaana emingi – gikuliza enjala ku ngalo
35. Omulangira bweyali ali e Kibulala yasuulibwa mu lusenyi omusibuka omugga, mugga ki ogwo? – Kitumbi
36. Woofunira lyerimu ku mannya agatuumibwa mu Buganda kiva ku ki? – Omuntu waafunira ebirungi ate nga bazadde be tebaliiwo
37. Amannya agayinza okuweebwa akaana k’ente akafudde? – Ensogobe oba akatoloogo
38. Okusimba obwanda kisoko kitegeeza ki? – Okubeera awantu n’otaviirawo ddala
39. Ebintu bibiri eby’ennono Omuganda byakola okutangira ensanafu okuyingira mu nju ye? – Okumansira evvu n’okusuula amalagala okwetooloola enju
40. Ebintu okukuba ng’emisu kitegeeza ki? – Ebintu okubeera ebingi ennyo
41. Ensiisira z’omulumbe zimenyebwa ddi? – Mu mukolo gwokukooza
42. Olugero: Kikira obusa – afumbirwa muggavu wa matu
43. Omuntu gwebatuuma erinnya Ssekamuli kansaze aba afaana atya? – Aba awakula nnyo entalo
44. Okumulisa kitegeeza ki? – Ekimera okumulisa n’ekikolwa ky’okutta enswa ekiro
45. Ekikolwa kyokussa akatiba mu lyato omuli omwenge kiweebwa linnya ki? – Okututubika
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo. K