District ye Mpigi erina Amasomero 110 aga primary agayambibwaako government, amasomero 70 gali bubi ebizimbe bikaddiye nnyo binaatera okugwa.
Omulambuzi omukulu ow’amasomero mu district ye Mpigi Katongole Gerald alangiridde nti enteekateeka eyokusuula kuttaka ebizimbe by’amasomero ebikaddiye etandika mu luwummula lwa term eyokusatu ey’omwaka guno 2023.
Katongole agambye nti Amasomero gebagenda okumenyera ebizimbe, abayizi bakugira nga basomera mu bisiikirize by’emiti okusinga okusigala mubizimbe ebyo nebibagwira nebafuna obuzibu.
Katongole Gerald anokoddeyo Amasomero agali obubi ennyo Okuli Galatiya P.school e Kiringente, Kibuuka Memorial p.school, Ssango primary school e Buwama, Muduuma Catholic school, St Peters Lwanga primary school mu town council ye Mpigi namalala.
District ye Mpigi efuna ensimbi ezikunukkiriza mu bukadde bwa shs 300 buli mwaka, nga zino bazikozesa mukuzimba ebizimbe 2 nga buli kimu kyabibiina 4 era buli mwaka Amasomero 2 gokka gegaganyulwa.
Katongole agambye nti kijja kutwala emyaka nga 20 Amasomero ge Mpigi gonna okuba nga gafunye ebizimbe ssinga government tebaako nakyeekolawo mu bwangu okukyusa enkola.
Abaasoomerako mu ssomero lya St Peters primary school Lwanga mu town council ye Mpigi nga bakulembeddwamu Paul Jjemba Bikwalo, Muyanja Patrick nga yakulira abaasomerako mu ssomero eryo nabalala bekozeemu omulimu okuyita bannabwe babeeko ensimbi zebasonda okuzimbira essomero lyabwe ebizimbe.
Bisakiddwa: Patrick Sserugo