Radio ya Buganda CBS yegasse ku bitongole, kampuni n’abantu abalala abawaddeyo ensimbi okudduukirira enteekateeka y’embaga ya Kyabazinga Isse Bantu Kadumbula Gabula Nadiope IV.
Kyabazinga wakugattibwa ne Ihne Bantu Jovia Mutesi nga 18 Novermber ku Kkanisa ya Christ the King Cathedral e Bugembe.
Ettu lya CBS liweereddwayo ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe ng’alikwasizza ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi olw’embaga ya Mwenemu, Eng. Patrick Batumbya.
,Eng Patrick Batumbya atenderezza enkolagana ya Buganda ne Busoga nti ettadde etofaali kunkulakulana ya Uganda.
Engineer Batumbya akunze abasoga nabantu bonna okwenyigira mu mukolo gw’embaga ogwebyafaayo mu bwa Kyabazinga.
Eng. Batumbya yeeyanzizza nnyo CBS olw’ensimbi zino n’omukwano gwebabalaze.#