Government kyadaaki ekaanyizza naaboluganda lwa Family y’omugenzi Dr.Aggrey Kiyingi, okubakkiriza okukomyawo omulambo gwe, yafiira .u Australia mu kibuga Sydney.
Dr. Aggrey Kiyingi abadde omukugu mu kujjanjaba endwadde gy’emitima, yafiira mu ggwanga lya Australia ku nkomerero ya September,2023, nga kibadde kikunukkirizza omwezi mulamba ng’ebyokukomyawo omulambo gwe bikyaliko kalumanywera.
Wabula enteeseganya wakati w’abantu abenjawulo zongedde okuyambako okutuuka kunzikiriziganya, era omulambo gutuusiddwa ku kisaawe e Ntebbe mu Uganda ku saawa kkumi ez’olweggulo.
Owek.Nelson Mugenyi omubaka wa ssabasajja mu kibuga kye Scandinavia, nga waluganda lwa mugenzi agambye nti Dr.Aggrey Kiyingi wakusabirwa mu lutikko e Namirembe nga 30th October, 2023 ku ssaawa munaana ez’olweggulo, n’oluvannyuma enkeera nga 31 October, 2023 aziikibwe ku biggya byabwe e Sseeta Namulonge.
Amawulire gookufa kwa Dr Kiyingi gaalangirirwa mukyalawe ku mikutu emigatta bantu.
Dr. Kiyingi abadde musawo mukenkufu ow’emitima (cardiologist), era abadde munnabyabufuzi awagira enkyukakyuka.
Ebimu ku bimukwatako;
Dr.Kiyingi abadde abeera mu Australia gyeyagenda mu buwangaanguse okuva mu mwaka gwa 1981.
Yeyali nnyini kampuni ya computer eya Dehezi International Ltd eyali ekulirwa mukyala we omugenzi Robinah Kayaga Kiyingi.
Robinah Kiyingi yatemulwa ng’ayingira mu maka gabwe e Buziga mu Kampla nga 11 July, 2005.
Dr.Kiyingi yakwatibwa mu kuziika mukyalawe e Kiteetikka mu Wakiso, n’abakozi be 2 nabo baakwatibwa nga balangibwa okuluka olukwe lw’okutta Mukyalawe, ku bigambibwa nti baalina obutakkaanya ng’abafumbo obwali bwekuusa mu by’obugagga byebaali bakoze bombi mu Australia.
Abaana be bebamu ku bantu abaaleetebwa mu kooti okuwa obujulizi ku kitabwe
Mu December 2006 Dr.Kiyingi kooti yamwegyeereza naddayo mu Australia gyeyali akakkalabiza emirimu.
Mu 2019 Dr.Kiyingi ng’awayaamu n’olupapula The Observer , yategeeza nti yali yeteekateeka kwesimbawo avuganye ku bwa president bwa Uganda mu kulonda kwa 2021.
Yali ateekateeka kwesimbirawo mu kibiina kye kyeyali tanawandiisa mu mateeka ga Uganda, wadde nga yategeeza nti emirandira gyakyo yali amaze okugisimba nga kyali kiyitibwa Uganda Federal Democratic Organisation.
Wabula mu 2015 government yali yamusaako omusango gw’okuvugyirira abayeekera Uganda, ekintu kyeyegaana nti kyali kigenderera kwonoona linnya lye.
Kyokka nga waaliwo nebyali biwulirwa nti ate yali mbega wa government ya president Museven, eyali agenderera okwonoona obululu bw’oludda oluwakanya government nakyo kyeyegaana, ate era teyasobola kwesimbawo kuvuganya.
Dr.Aggrey Kiyingi yasooka kukola nteekateeka ez’okwesimbawo mu kalulu ka 2016 wabula nakyo tekyasoboka, wadde nga yali asabye Electoral Commission emuwandiise yesimbewo ku bwa president, ng’ali bweru wa ggwanga.#