President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni atongozza enkambi y’amagye go ku mazzi e Ntokoro mu district ye Mayuge, n’akalaatira abagiddukanya okufaayo ennyo ku butebenkevu bw’eggwanga.
President Museveni agambye nti Uganda erina ebitundu 20% ebirina amazzi, ebyaawula Uganda ku mawanga omuli Kenya , Tanzania ne Congo, nga n’olwekyo okunyweeza ebyokwerinda ku mazzi kyankizo nnyo.
Museveni asinzidde ku mukolo guno naavumirira abajaasi mu ggye erirwaanyisa envuba embi ku Nyanja okusiwuukanga empisa nebajojobya bannansi n’okulya enguzi kyagambye nti kikyamu era tekisaanye kuddamu kuwulirwa.
President Museveni asabye abavunaanyizibwa ku nkambi eno okukola ekisoboka okuliyirira bannyini ttaka kwetudde, oluvannyuma lw’abatuuze okwemulugunya nti bangi ku bbo tebannaliyirwa yadde omunwe gw’ennusu.
Mu ngeri yeemu Museveni alabudde Abasoga ku nnima y’ebikajjo ku ttaka ettono ddala, naabasaba bakole nga Banna Buddu abatadde amaanyi mu kulima Emwaanyi n’Amatooke, Abanyankole abalunzi bagambye nti bano baatandika dda okusiibula Obwavu mu maka gabwe.
Minister w’ebyokwerinda n’ensonga z’abazirwaanako Vincent Bamulangaki Ssempijja asabye abaddukanya ekifo kino obutakoowa kubangula baweereza ku nkambi eno.
Omuduumizi w’enkambi eno Brig Gen. Michael Nyarwa asuubizza nti abajaasi abakuuma ku mazzi beesigwa, era baakusobozesa entambula y’ebyamaguzi okubeera ennungi awatali kutaataaganya byabusuubuzi.
Bisakiddwa: Kato Denis