Abasomesa 6 ku ssomero lya Nampita secondary school mu district ye Yumbe baakutwalibwa mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe, oluvannyuma lw’Okukwatibwa nga bagezaako okukoppera abayizi ba S.4 ebigezo.
Abasomesa abali ku kyokya kuliko Sadam Hussein,Obo Julius, Ongukol Josephine, Okello Emmanuel, Wasswa Godwin, Ntibiringirwa Boniface, Bamukaabire James ne Bosco Olyema eyali omukuumi w’ebigezo.
Jenifer Kalule Musamba omwogezi wa UNEB nti abakwate kigambibwa nti baali bagezaako okukoppa ekibuuzo kya Biology ow’Obwoleke , nga bayita ku ssimu za seereza ne Computer.
Bisakiddwa: Kato Denis