Abakristu b’ekisomesa kya St. Gabriel Maya Bujaasi mu Parish y’e Katende, bajaguzza emyaka 17 kasookedde ekisomesa ekyo kigunjibwawo.
Batemye n’evvuunike ly’okuzimba ennyumba y’abasaaserdooti abanaabeera ku kifo ekyo ekisuubira okusuumuusibwa okufuuka ekigo ekyetongodde nga kyawulwa ku ky’e Katende.
Ennyumba y’abakulu esuubirwa okuwemmenta obukadde bw’ensimbi ezisoba mu bukadde 120.
Mu kitambiro kya mmisa eky’okujaguza emyaka 17,ekikulembeddwamu akuuma ekifo kya Bwanamunkulu w’e Katende, Rev Fr. Gerald Majeera Yiga, asabye Abakristu b’e Bujaasi okukolera awamu olwo lwebanaasobola okutuukiriza kyebatandiseeko, ate nga bwebeetegekera okufuna ekigo.
Fr. Yiga agambye nti obumu mwemumuli obuwanguzi
Mu mmisa eno, Fr. Yiga awadde abaana abasoba mu 100 Essaakramentu lya Ukaristia. (Communio esooka)
Mmeeya wa Town Council y’e Kyengera era nga naye mukristu mu kisomesa kino, Mathias Mulumba Walukagga asabye Abakristu okwevaamu, nga bawaayo buli omu ekigya mu busobozi bwe bazimbe ekigo kyabwe.Meeya Walukagga awaddeyo akakadde kamu n’ekitundu ku mulimu guno.
Ssaabakristu wa Denary y’e Mpigi era Ssaabakristu w’ekisomesa kino, omwami wa Kabaka owa Ggombolola Mut IV Masekkati Kampala, Henry Yiga Male agambye nti basimbudde era basuubira nti ennyumba eno yaakuggwa omwaka ogujja 2024.
Ensimbi ezisoba mu bukadde 20 zezisoondeddwa mu buliwo.
Omwami Henry Yiga Male agambye nti ebikozesebwa nga bbulooka, ne Cement byonna babirina.
Omukolo guno gwetabyeko n’omubaka omukyala owa district y’e Wakiso Betty Ethel Naluyima ng’ono omulimu aguwagidde n’ensimbi akakadde kamu.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.