Abadde minister w’abavubuka emizannyo n’okwewumuzamu mu bwakabaka bwa Buganda Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu awaddeyo woofisi mu butongole n’asaba amuddidde mu bigere okuteekasa mubnkola enteekateeka 13 ezibagiddwa okutumbula n’okukulakulanya abavubuka mu Buganda.
Ssabasajja Kabaka yasiima nakyuusa Minister w’abavubuka Owek. Ssekabembe namusikiza Owek Robert Sserwanga Ssalongo.
Munkyukakyuka zino ministry eno yakyusibwa erinnya netuumibwa ey’abavubuka ,eby’emizannyo n’ebitone.
Omukolo ogw’okuwaayo wofiisi gubadde ku mbuga enkulu e Bulange Mengo.
Oweek Ssekabembe akwasiza Minister omupya ebiwandiiko 13 omubadde ekirambika enzirukaanya y’rbibiina by’aavubuka ebyenjawulo mu Buganda, ezirukanya ya Nkoba Zambogo wamu ne kibiina kya Ssuubi lya Buganda, nga kino kibiina kyekigenda okubeeramu abavubuka ba Buganda abavudde mu matendekero.
Ebiwandiiko ebiralala byamukwasiza kuliko ebiraga enteekateeka ekwata ku Buganda Youth App, obwakabaka mwebwagalira okuyita okumanya obukugu bwa bavubuka ba Buganda bwebalina okusobola okuyambibwa okufuna emirimu, wamu ne Buganda Data Base nga munno obwakabaka mwebugenda okuyita okumanya ebikwata ku bavubuka ba Buganda.
Oweek Ssekabembe asabye amuddide mu bigere afube okuteeka mu nkola ebyo ebiri mu biwandiiko byamukwasiza naddala Ssabasajja byeyamala okuteekako omukono.
Oweek Ssekabembe wawereddeyo ofiisi mwamaze emyaka 10, nga Obuganda bwongedde okuyitimusa emizaanyo egyenjawulo okuli empaka z’amaato ,Omupiira gw’ebika ,Omupiira gw’aMasaza ,empaka z’ekigwo ekiganda, Golf, Volley Ball n’emizannyo emirala.
Oweek Ssekabembe yeyanziza nyo Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okumuwa omukisa okumuweereza.
Asabye abantu ba Ssabasajja Kabaka okwongera okubeera Obumu nookwenyigira mu nteekateeka zona ezobwa Kabaka, naddala okuwagira eby’emizannyo.
Ate ye Owek Robert Sserwanga Ssalongo aweze nti agenda kukolagana nabuli muntu okuweereza Namulondo awatali kubongoota.
Akuutidde abavubuka okufuba okufuna obukugu obunaabayamba okunyweza emirimu gy’ebakola, kibasobozese okuyitimuka mu mirimu gyabwe.
Asuubizza nti obuweerezabwe agenda kubwesigamya kukuyamba abavubuka bonna mu Buganda naddala abali ebweru w’essomero, okubaako emirimu gy’ebakola mubwesimbu okukyusa obulamu bwabwe ate n’Obuganda.
Ku lwa ba Ssentebbe be Mizannyo, Ebibiina bya bavubuka n’obukiiko obwenjawulo mu ministry ya Bavubuka Emizannyo ne Bitone, Ssentebbe wa Mupiira gwebika Owek Hajji Magala Suleiman asuubizza nti bakukolagana ne minister omuggya nga bwebadde bakola ne minister abaddewo Owek.Ssekabembe Kiberu.
Omukolo gwo kuwayo Woofisi gwetabiddwako abantu abenjawulo Okubadde Amyuka omuteesiteesi omukulu mu Buganda Peter Zzaake, Minister w’amawulire ,Okukunga abantu era Omwogezi wobwa Kabaka Owek Israel Kazibwe, Ba ssentebe b’emizannyo mu Buganda bonna, ba Ssentebe ba Bavubuka mu bibiina bya Buganda nabantu abalala banji
Bisakiddwa: Nakato Janefer