Ababaka ba bajjajja abataka abakulu ab’obusolya e Bungereza bakiise embuga, basabiddwa okunyweeza ennono z’Obwakabaka yonna gyebali.
Ababaka b’Abataka abakulembeddwamu Kibuuka Geofrey owe Bungereza nga akiikirira Jajja Kayiira ow’Embogo, David Ssegawa omubaka wa Mugema e Bungereza, Kiyingi Bbosa ow’Ekika ky’Endiga, Deusi Zziwa ow’Ekika ky’Endiisa , Rebecca Katonda Gwaliwa Omukisa , James Mugga ne Haji Badru Male omubaka wa Namwama beyanzizza Beene olwokubawa obuvunaanyizibwa buno.
Beyamye okukola obutaweera okutaasa Namulondo nga bayita mu Bika byaabwe.
Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Prof Haji Twaha Kawaase Kigongo bw’abadde ayogerako gyebali ku mbuga enkulu mu Bulange e Mengo, asabye ababaka Ba Bajjajja mu mawanga g’Ebunaayira obutava ku nnono z’Obwakabaka, bazisomese abazzukulu ba Buganda wonna bazimanye.
Obuvunaanyizibwa obulala obuweereddwa ababaka bano mulimu okusomesa abaana Olulimi Oluganda n’Obuwangwa , n’Okubamanyisa nti Ssaabasajja Kabaka ky’Ekitikkiro kyokka okusibuka essanyu lya Buganda.
Owek Kawaase agambye nti kikyaamu okulaba abaana abaganda mu Bungereza ngabbakulira mu mpisa ezityoboola ennono z’Obwakabaka, naabasaba batereeze ekizibu kino.
Ababaka bajjukiziddwa okukola obutaweera okunyweereza ebika mu kwagala Ssaabasajja, kyokka mungeri eyenjawulo nebasabwa okusiga ensimbi mu Buganda, bagende okuva ku mawanga okudda ku butaka nga embeera zaabwe nnungi ddala.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’abataka Namwama Augustine Kizito Mutumba asabye abazzukulu ba Buganda emitala w’amayanja baseewo enkola y’okufunamu obubaka obuva mu Buganda, kisobozese emiti emito okumanya ennono zabwe.
Bisakiddwa: Kato Denis