Ekisaakaate kya Nnaabagereka eky’omulundi ogw’e 17 eky’omwaka 2024 kitongozeddwa.
Ekisaakaate kyakuyindira ku ssomero lya Homesdallen erisangibwa e Gayaza mu ssaza lya Ssabasajja Kabaka erya Kyadondo.
Kisaakaate kino kitandika nga 4 okutuuka nga 21 January 2024.
Kyakutambulira ku mulamwa ogugamba nti Okulafuubanira Obuntubulamu.
,Bwabadde atongoza ekisaakate kino ku mukola ogwetabiddwako Nnaabagereka Sylivia Naginda, omubaka wa Ireland mu Uganda Ambassador Kevin colgan abadde Omugenyi Omukulu yebazizza Nabagereka olw’okugunjula abaana mu Uganda, n’agamba nti omwana agunjuddwa asobola bulungi okugoba obwavu n’okukulakulanya Eggwanga .
Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba omukuburiza w’olukiiiko lw’abataka asomozezza a Baganda okumanya obuwangwa bwaabwe.
Omukuburiza w’olukiiiko lwa Buganda Owekitiibwa Luwaga Mugumbule yebazizza kampuni ezikwatiddeko Nabagereka okugunjula abaana.
Kampuni okuli Finance trust Bank bawaddeyo obukadde 35 Mtn bawaddeyo obukadde 14, Uganda National drug Authority bawaddeyo obukadde 10 nebawera okwogera okukwasizaako Maama Nabagereka mukuzimba Obuganda
Bbo abakwasiddwa engoma yokutegeka ekisakaate ekyomwaka 2024 Homesdallen nga bakulembeddwa Omukulu w’esomero Kalyango Godfrey Dickson baweze nti bagenda kukola nnyo okutegeka ekisogwetagisa.