Omujulizi Donozio Ssebuggwawo Wasswa, yooumu ku bajulizi ba Uganda 22 abajjukirwa mu eklezia katulika.
Yazaalibwa Kigolooba mu ssaza Bulemeezi.
Yali yeddira Musu.
Kitaawe yeyali Kajjansi ate nnyina, Nsoga eyali Omusoga.
Bakaddebe baasenguka okuva e Kigolooba Bulemeezi nebadda e Bunono Nkumba mu Busiro.
Ssebuggwawo naye yali mumbowa ku Myanga, yalina ekitone ky’okulya mu ndago (Okuyimba) anti yalina eddoboozi ery’eggono n’eggwawo.
Okufaananako n’abalala abaasoma eddiini y’ekikatuliki, Ssebuggwawo yalina obuvumu obutagambika newankubadde yali muto mu myaka.
Yayagala nnyo omulimu gwe, wabula aliko ebiyisayisa byebaali bamuyingizaamu n’aguguba.
Ku myaka 16 gyeyalina yannyikira nnyo mu ddiini era nga yali tayuuzibwayuuzibwa, ekyawa abalala obuvumu.
Yasoggebwa effumu akawungeezi ka 25 May, kyokka naafa enkeera nga 26 May 1886 e Munyonyo.
Omujulizi Omutuukirizu Donozio Ssebuggwawo ye muwolereza w’Abayimbi.
Bikunganyiziddwa: Kamulegeya Achileo K