Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll asiimye naggulawo Olukungaana lwa Buganda Bumu North American Convention oluyindira mu kibuga Seattle mu America, naalagira abantube obutakkiriza muntu yenna agezaako kubaawulayawula.
Maasomooji obubakabwe obuggulawo olukungaana luno busomeddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.
Asiimye obuvujjirizi obwa buli kika obuweebwaayo abantube mu bitundu byonna nebuyambako mu kusitula Buganda.
Ssaabasajja Kabaka agambye nti Obwakabaka bukyasomoozebwa amazzi amacaafu agavaako endwadde okusasaanira mu bantube n’ebizibu ebirala.
Olukungaana luno olutudde mu Hyatt Regency hotel ekya Seattle mu America lugenderedde okutema empenda ez’okwangaanga ebbula ly’amazzi amayonjo mu Buganda.
Katikkiro ku lulwe asabye abantu ba Kabaka okukuuma ekitiibwa kya Buganda wonna webali, kyokka naabajjukiza nti Uganda ng’eggwanga nalyo lirina nayo okususuutwa.
Santa Kinyera omumyuka w’Omubaka wa Uganda mu America Robinah Kakonge agambye nti olukungaana luno luyambye nnyo okukuuma Obuwangwa n’ennono, obumu n’okukubaganya ebirowoozo mu bantu ba Buganda ne Uganda ey’emirembe egijja
Yebazizza Obwakabaka bwa Buganda okukyusa embeera z’abantu baabwo.
Omubaka wa Ssaabasajja atwala essaza North West Pacific America Owek. Eng Moses Mayanja Gayi agambye nti okufa n’Obutanyagwa tebagenda kukkiriza muntu yenna kulemesa ntekateeka za Ssabasajja ez’Okusitula Obwakabaka, naasaba abantu mu Buganda okukuuma obumu.
Olukungaana luno lwetabiddwamu n’Omulangira Kintu Wasajja, Minister avunaanyizibwa ku nsonga z’abantu ba Kabaka wabweru wa Buganda Owek. Joseph Kawuki, minister w’amawulire Owek.Noah Kiyimba, minister w’ettaka n’obutonde bw’ensi Owek.Mariam Mayanja, bataka abakulu b’obusolya n’abantu abalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis