Abakyala mu Buganda okuva mu masaza egenjawulo batandise okutuuka mu kifo kya Ssese Island Beach,ewagenda okubeera emikolo gy’okujaguza olunaku lw’abakyala wamu ne ttabamiruka w’abakyala mu Buganda mu Ssaza lye Ssese.
Omulamwa gw’omwaka guno gugamba nti Tweyambise Technology n’obuyiiya tulwanyise Mukenenya n’obusambattuko obuva kukikula ky’a bantu.
Enteekateeka eno yatandika n’ebikujjuko ebyenjawulo nga byatandiika 17 may, mwalimu okugaba omusaayi,Emisomo ku by’amateeka ,Obutabanguko mu maka n’ebirala .
Minister w’ekikua ky’abantu mu Buganda Owek. DR Prosperous Nankindu Kavuma agamba nti balina esuubi nti omulamwa okutambulidde Tabamiruka n’o lunaku lw’abakyala mu Buganda gunyikidde bulungi mu bantu ba Ssabasajja Kabaka, era bakusobola okulwanyisa Mukenenya.#