Omwana ow’emyaka 4 ateeberezebwa okuba ng’aweereddwa obutwa obubadde bulungiddwa mu waragi.
Omwana ono ategerekeseeko erya Ronald abadde mulekwa, era ng’abadde abeera ne Jajjawe naye ategerekeseeko lya Nandawula omutunzi w’omwenge ku kyalo Lwamatengo mu gombolola ye Nakasenyi mu district ye Ssembabule.
Ssentebe w’ekyalo Lwamatengo John Kakooza agambye nti ewabadde omulambo wasangiddwako akacupa ka waragi akateeberezebwa okuba nti kekabadde kalungiddwamu obutwa.
Kakooza agambye nti n’omulambo gwonna gusangiddwa kucuuma waragi.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito