Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda olumaze ennaku bbiri mu Butikkiro e Mengo, nga lwekeneenya enteekateeka ya Nnamutaayiika okunaatambulizibwa emirimu eye myaka etaano egijja 2023-2028 lukomekkerezeddwa.
Mu nteekateeka eno muteereddwamu emiramwa, ebiruubirirwa n’empimo ebinaagobererwa mu nkola y’emirimu mu baweereza b’Obwakabaka bonna okuva nga 1 July 2023 okutuusa nga 30 June 2028.
Bwabadde aggalawo olusirika luno, Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti emyaka etaano egiddako gyakutambulira ku miramwa esatu, egisiimbuliziddwa mu nsonga Ssemasonga ettaano.
Katikkiro Mayiga agambye nti baakutunuulira nnyo Okukuuma Obuwangwa n’ennono bya Buganda nga Ssemasonga asooka bw’alagira; Okukuuma, Okunyweza n’okutaasa Nnamulondo.
Mu mbeera eno Obwakabaka bwakunnyikiza ensonga eno mu Bantu ba Kabaka okumanya ekitiibwa ky’Omutanda n’ebimwetooloolerako.
Okutumbula eby’obulamu mu Buganda ng’abamatiza abantu omugaso gw’okwekebeza endwadde, okwegemesa, okusula n’okulya obulungi, okufuna amazzi amayonjo, okuzimba kaabuyonjo, n’ebirala ebirowoozebwa nti byakuyamba nnyo mu kutumbula enkulaakulana mu bantu ba Buganda mu kaweefube w’okusaanyaawo olunnabe lw’obwavu mu bantu ba Buganda.
Okutumbula eby’enjigiriza; Buganda eruubirira okukozesa amasomero n’amatendekero gaayo okusomesa abaana ba Buganda n’okuyamba ku government eyawakati mu kulambika ebiteekeddwa okusomesebwa abaana mu masomero, omuli Ennimi enzaaliranwa, ebyafaayo by’ebitundu byabwe n’ebirala.
Mu nkulaakulana ya Buganda; Obwakabaka buluubirira okwongera ku muwendo gwa bannamukago abasiga ensimbi mu Buganda, okuzimba amakolero, ebyobusuubuzi, okutumbula eby’obulambuzi n’okubikuuma omuli n’okukuuma obutonde bw’ensi obutiribiri.
Ebbago lya Nnamutaayiika ono nga liteekeddwateekeddwa, lyakuweerezebwa mu Kabineti erikubaganyeeko ebirowoozo olwo ayisibwe Olukiiko olukulu olwa Buganda.
Olukiiko olugenda okwekenneenya n’okutereeza Nnamutaayiika lwakutuulako;
Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Hajji Prof Twaha Kigongo Kaawaase, Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro Owek Robert Waggwa Nsibirwa, Owek. Noah Kiyimba, Omutaka Augustine Kizito Mutumba, Omutaka Kidimbo omukulu w’Ekika kya Enkerebwe, Owek. Isaac Mpanga, Ppookino Jude Muleke, Omuk. Josephine Nantege, Omuk. Steven Mwanje, Omuk. Anthony Wamala, Omuk. Roland Ssebuwuufu, Omw. Peter Zaake, Omw. Joseph Mugagga ne Owek Cotiliida Nakate.
Olusirika luno lwetabyemu abakulembeze okuviira ddala ku ba minisita ba Kabaka, Bajjajja Abataka Abakulu b’ebika, Abaami b’amasaza n’abamyuka babwe, Bassenkulu b’ebitongole bya Buganda, Bannampala b’amasaza n’abalala.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K