• Latest
  • Trending
  • All

UNEB efulumizza ebyava mu bigezo bya S.4 2022 – abayizi 15,756 bagudde

February 9, 2023
Ababaka ba parliament 7 besozze NUP  nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

May 21, 2025
Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

May 21, 2025
Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga

Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga

May 21, 2025
Busiro CBS Pewosa Sacco etuuzizza Ttabamiruka wa 2024 – Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa nga ssentebe omuggya

Busiro CBS Pewosa Sacco etuuzizza Ttabamiruka wa 2024 – Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa nga ssentebe omuggya

May 21, 2025
Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

May 21, 2025
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde e Wantoni – abalala 9 bali mu mbeera mbi

May 21, 2025
Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

Parliament eyisizza ennoongosereza mu bbago ly’etteeka erirambika emirimu gy’amagye g’eggwanga aga UPDF erya 2025- ab’oludda oluvuganya tebabaddeewo

May 20, 2025
Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

Ssaabasajja Kabaka asiimye ow’emyaka 5 eyamuweereza obubaka bw’amazaalibwa ge ag’emyaka 70 – amuweerezza ebbaluwa emusiima

May 20, 2025
Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

Buganda Bumu North American Convention 2025 – Katikkiro Mayiga wakubalambika ebifa embuga

May 20, 2025
Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

Ababaka b’oludda oluvuganya government baddukidde mu kooti – bawakanya etteeka ly’amagye eryanjuddwa mu parliament

May 20, 2025
Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

Masaza Cup 2025 – Mawogola eronze Asaph Mwebaze ng’omutendesi omuggya

May 20, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Ab’emmundu banyaguludde mobile money e Kasenge

May 20, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

UNEB efulumizza ebyava mu bigezo bya S.4 2022 – abayizi 15,756 bagudde

by Namubiru Juliet
February 9, 2023
in Amawulire
0 0
0
0
SHARES
167
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga ki Uganda National Examinations Board kifulumizza ebibuuzo by’abayizi abaatuula eby’akamalirizo ebya S.4 omwaka oguwedde 2022.

Ku bayizi abaatuula ebibuuzo 345,695, mu centers 3703, abaayise era bakkirizibwa okweyongerayo ku mutendera oguddako bali 329,939, ate abayizi 15,756 bagudde.

Ssentebe wa UNEB Dan Odongo, agambye nti waliwo abayizi 3,764 abeewandiisa okukola ebibuuzo bino wabula tebaalabikako ku nnaku z’ebigezo.


Mu ngeri yeemu Odongo agambye nti ebibuuzo by’abayizi 1,035 bakyabikutte,nga bateeberezebwa okwenyigira mu kubbirira ebigezo.

Abayizi 46,667 bayitidde mu ddaala erisooka, 76,745 mu ly’okubiri, 88,690 mu ly’okusatu, 11,783 mu ly’okuna ate 15,756 baagudde n’enkoona n’enywa.

Ekkomera ekkulu e Luzira lyatuuza abayizi 51, abayizi 8 nebayitira mu ddaala ery’okubiri, 16 mu ly’okusatu, 8 mu ly’okuna ate omu agudde.

Abayizi abaliko obulemu abaatuula omwaka oguwedde baali 721, era bayitidde mu ddaala lyakuna.

Minister w’ebyenjigiriza Janet Museveni agambye nti bakunyiikira okusomesa ennimi engwira naddala oluchina olwómuwendo gwa bannauganda abettanira okusuubula mu China okweyongera.

Mu ngeri yeemu asuubizza nti government ekola kyonna ekisoboka okutunula mu nsasula y’abasomesa ba Arts omusaala ogwegasa nga bannaabwe abasomesa Sciences.

Agambye nti gavumenti nneetegefu okulwanyisa emize gy’okubbirira ebibuuzo nga bassa mu nkola etteeka eppya erikangavvula ababwenyigiramu.

Abayizi abatalina ddaala mwebayitidde Janet Museveni abawadde amagezi okuddamu okwetegereza oba okufuna engeri gyebasomamu emisomo gy’emikono.


Okusunsulamu abayizi abanaayingira S.5 kwakubaawo nga 23 ne 24 February mu kibangirizi kyabannamakolero e Lugogo, olwo batandike okusoma mu S.5 nga 6 March 2023.

Okutwalira awamu, ku mulundi guno abayizi bakoze bulungiko okusinga emyaka egiyise, newankubadde waaliwo okusoomoozebwa kw’ekirwadde kya Ebola ekyataataaganyaamu entambuza n’enkola y’ebigezo.


Abayizi baakoze bulungi nnyo amasomo okuli Olungereza, Eddiini naddala Ey’obusiraamu, Agriculture, Geography n’okusiiga ebifaananyi.

Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026
  • Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde
  • Omulamuzi Simon Byabakama ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ayagala abasirikale abatabangula okulonda bakangavvulwe olw’okugotaanya ebyenfuna by’eggwanga
  • Busiro CBS Pewosa Sacco etuuzizza Ttabamiruka wa 2024 – Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa nga ssentebe omuggya
  • Enkalu zeyongedde mu musango oguvunaanibwa Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya – baziddwayo ku alimanda

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -