Olutuula lwa parliament oluggye obwesige mu minister Persis Namuganza lubadde lukubirizibwa omumyuka wa sipiika wa parliament Thomas Tayebwa, era nga lutandise ku ssaawa nnya ezokumakya.
Akakiiko kabadde banoonyereza ku minister Persis Namuganza kabadde kakulemberwa omubaka wa Mbarara South Mwine Mpaka n’ababaka abalala okuli omubaka omukyala owa Wakiso district Naluyima Betty ,Wilfred Niwagaba,Mpindi Bumaali, Charles Bakkabulindi, Nancy Acora, Godfrey Ekanya.
Mwine Mpaka bwabadde asoma alipoota eno mu parliament ategeezezza nti kuntuula zonna zebabadde bamuyitamu, Namuganza talabiseeko, okugyako okusindika Munnamateekawe Norman Panda.
Wabula munnamateeka ono kinajjukirwa nti yagobebwa mu kakiiko kano oluvanyuma lwokutankana mu byeyali ayogera.
Minister Persis Namuganza avunaanibwa okukozesa obubi wofiisi ye mu biseera bweyali minister w’ebyettaka n’akozeseza obuyinza bwe okugaba etteka lya government e Naggulu, Parliament kyeyagamba nti yaligaba mu nkola eyalimu ebirumira, ng’okwo kwotadde okutyoboola ekitiibwa kya Parliament.
Akakiiko kaazuula nti waliwo obutambi obwenjawulo ku mikutu gya TV ezenjawulo ng’era buno bulagiddwa ku lutimbe lwa parliament eyawamu, nga bulaga minister Namuganza nti ng’atyoboola Parliament ne Sipiika waayo Anita Annet Among.
Akakiiko era kalaze nti abajulizi bonna okwali omubaka omukyala owa Tororo district, Sarah Opendi, Dan Kimosho Omubaka wa Kazo couty omubaka wa Bukooli central Solomon Silwany, Gilbert Olanya Omubaka wa Kilak south, Okot John Amos Omubaka wa Agago North, Yonna Musinguzi Omubaka wa Ntungamo municipality, Amero suzan Omubaka wa Amuriat district nti bonna baasemba minister Namuganza agyibwemu obwesigwa.
Akakiiko era kaazudde nti minister omubeezi owamayumba Persis Namuganza nti yayisa olugaayu mu Parliament, yakozesa bubi wofiisi ye ng’agaba ettaka lyé Nakawa-Naggulu, n’okutyoboola mukamaawe Sipiika wa parliament Anita Annet Among era nekasemba agobwe ku bwa minister.
Amyuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa awadde minister Namuganza ekyanya yewozeeko, wabula oluvanyuma lwokukizuula nti tabaddewo ngate tali nakumukutu gwa zoom, kwekuggulawo okubaganya ebirowoozo eri ababaka ba parliament.
Wano ababaka ba parliament okubadde Omubaka wa
Bunyole East Yusuf Mutembule nóowa Bukanga North Nathan Byanyima,webasabidde nti minister ono abeere ekyokulabirako eri abakungu ba government abalala abeefuula banantagambwako era nebasemba ekyokugibwamu obwesige.
Omubaka wa Buyaga west Barnabas Tinkasiimire asabye parliament erekere awo okukubaganya ebirowoozo basobole okukuba akalulu, kuba baleme kwonoona budde nga bakubaganya ebirowoozo ku nsonga ya Namuganza omuntu eyalemererwa okwewozaako newankubadde nga yawebwa omukisa, olwo n’asaba sipiika akkirize era nebatandika okukuba akalulu ekintu ekikkiriziddwa.
Gyebiggweredde ngábabaka 5 bagaanye okukiwagira, so nga 3 baganye okwetaba mu kulonda, ate 348 bebasazeewo minister aggyibwemu obwesige.
Amyuka Sipiika Thomas Tayebwa oluvannyuma lw’okulangirira ebivudde mu kulonda ategeezezza nti agenda kuwandiikira president ku bisaliddwawo Parliament obutasukka Ssaawa 24 ng’amateeka agafuga entuula za Parliament bwegalambika.
Ababaka abatakkiriziganyiza nakyakuggyamu Namuganza bwesige, kubaddeko omubaka wa Adria Yorke Aringa South, n’omubaka Katali Loy omubaka omukyala owa Jinja District, Nakato Mary omubaka omukyala owa Buyende ne Moses Walyomu owa Kagoma County.
Ababaka abatalaze ludda babadde basatu okubadde omubaka omukyala owa Masindi Florence Asiimwe, Anguzulee Denis owa Maracha county nákiikirira abakadde mu masekati géggwanga Peninah Businge.
Bisakiddwa: Nabagereka Edith