Eyali nakinku w’ensi yonna mu kucanga endiba, Edson Arantes Do Nascimento abangi gwe bamanyi nga Pele, agalamiziddwa munju ye ey’olubeerera mu kibuga Santos ekya Brazil mu limbo gye yalaama okuzikibwamu eya Memorial Necropole Ecumenica cemetery ku mwaliriro ogw’omwenda.
Pele nga tanaba kuziikibwa, asoose kwetoloozebwa ekibuga Santos, era abantu bangi babadde bakwatiridde ku mabbali g’enguudo, abalala balinnye ku bizimbe waggulu wakati mu kwazirana n’ebiwoobe.
Abakungubazi ababadde bakwatiridde ku nguudo babadde bayimba ennyimba ezimususuuta, ate abalala babadde bambadde emijoozi egiriko erinnya lye ne number 10 gye yayambalanga.
Pele olunaku lw’eggulo yasoose kutwalibwa mu kisaawe kya Urbano Caldeira stadium mu kibuga Sao Paulo abakungubazi gye bamukubiddeko eriiso evvanyuma.
Pele era atuusiddwako mu maka ga maamawe Celeste Arantes eyawezeza emyaka 100 mu November omwaka oguwedde.
Pele yafiiridde ku myaka 82 mu ddwaliro lya Albert Einstein Hospital mu kibuga Sao Paulo, oluvanyuma lw’ekiseera ng’atawanyizibwa obulwadde bwa kkookoolo.
Pele yayingira mu byafaayo mu 1958 bwe yawangula ekikopo kya World Cup ku myaka 17 gyokka, nga Brazil ekuba Sweden era mu mipiira ogwo Pele yateebamu goolo 2.
Pele era ye muzannyi yekka ekyawangudde ekikopo kya World Cup emirundi 3 mu 1958, 1962 ne 1970, era nga yakyasinze okuteebera Brazil goolo ennyingi ziri 77 mu mipiira 92.
Pele yanyuka okuzannya omupiira mu 1977 mu club ya New York Cosmos.
Yazannya emipiira 1363 n’ateeba goolo 1281.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe