Bya Issah Kimbugwe
Club ya Simba FC egucangira mu liigi ya babinywera eya Tanzania eyagala kukansa omuteebi wa club ya Vipers eya Uganda Premier League, Cesar Manzoki.
Simba FC eyagala Manzoki agicangire endiba okutandika ne season ejja.
Cesar Manzoki endagano ye ne Vipers egwako kunkomerero ya season eno,kyokka akyaganye okuzza obujja endagaano ye ne club eno.
Ensonda ezesigika zikakasizza nti aba Vipers bataddewo ensimbi emitwalo gya doola 3 eri omuzannyi ono, naye akyeremye.
Kigambibwa nti Club ya Simba emwogereza yamusuubizaz okukubisaamu m nsimbi za Vipers emirundi 2.
Club endala okuli El Merrikh ne Al Hilal eza Sudan nazo zegwanyiza okutwala omuzannyi ono.
Cesar Manzoki abadde musaale eri obuwanguzi bwa club ya Vipers bwetuseeko obwomuwangula ekikopo kya Uganda premier league.
Manzoki yakyasinza goolo ennyingi ziri 16.