Abaddu ba Allah abayisiraamu okwetoloola ensi yonna,olwaleero batandise okusiiba omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan,okujjuza empagi ey’okuna okuzimbiddwa obuyisiraamu.
Abasiramu ekisiibo bakitandise n’okulya ddaaku obudde nga bukya, bakusiibulukuka ng’e enjuba egoloobye.
Sheikh Abdul Hafiizi Walusimbi director wa Sharia e Kibuli, annyonyodde nti Okusiiba omwezi gwa Ramadhan yeemu ku mpagi 5 okuzimbiddwa obusiramu.
Empagi endala kuliko okukkirizza Allah nómubakawe Muhammad Swalalahu-Aleyihi Wassalama.
Okusaala esswala 5 buli lunaku.
Okutoola zakah mu maali yo.
N’okulamaga e Mecca okukola Hijja.