Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde government amagezi nti okumalawo ebikolwa eby’okulinnyirira eddembe lya bannamawulire, nti kittattana ekifaanayi ky’eggwanga.
Katikkiro agambye nti ebikolwa omuli abakuuma ddembe okukuba n’okubuzaawo bannamawulire, okubakubira ku mirimu gyabwe n’ebirira bisaanye bikomezebwe.
Katikkiro abadde asisinkanye bannamawulire abavudde ku mikutu egyenjawulo abagasakira e Mengo, ku kabaga kaabwe akakomekkereza Omwaka kabadde mu Bulange e Mengo.
Katikkiro mungeri eyenjawulo yeebazizza bannamawulire abagasakira Obwakabaka ,nabeebaza okuweereza Buganda.
Bannamawulire abawadde amagezi okubeera abayiiya nga beenyigira mu mirimu egitali gimu omuli okulima n’Okulunda,bagaziye enfuna yabwe.
Minister w’Amawulire era Omwogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke, asabye bannamawulire okwetoloola eggwanga lyonna okweewala amawulire agasasamaza.
Ssentebe wa bannamawulire abagasakira e Mengo Annet Nalubwama, alambululidde Kamalabyonna ebituukiddwako mu mwaka guno 2023, omuli okusuusa ensonga ezifa embuga eri abantu, okukuuma obumu n’ebirala.
Omukolo guno gwetabiddwako minister w’Ebyenjigiriza n’ebyobulamu Owek Nakate Cotilda Kikomeko.
Mu ngeri yeemu Katikkiro awadde bannamawulire abagasakira e Mengo ettu lya ssekukkulu.
Bisakiddwa: Kato Denis