Eyaliko omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes Walusimbi Godfrey, ye mugenyi ow’enjawulo mu ppulugulaamu ya Bbingwa ku CBS Emmanduso 89.2, nga 08 July,2025 era yoomu kubagenda okusoya abamegganyi.
Bbingwa atandika ku ssaawa nnya ez’ekiro okutuuka ku mukaaga, ng’abamegganyi baddamu ebibuuzo ebikwata ku by’emizannyo egy’enjawulo.

Bataano ku bannabyamizannyo abeetabye mu Bbingwa mu luzannya olwasoose nebawaanduka, baweereddwa ebbaluwa ezibasiima olw’okwetabamu.
Ebbaluwa zaabakwasiddwa munnamawulire Zambaali Blasio Mukasa, era eyabadde omugenyi ow’enjawulo eyabasoyezza.#













