Government erangiridde enkyukakyuka mu masomero gaayo aga bonna basome agali ku mutendera gwa primary ne Secondary, omuzadde takyaddamu kusasulayo wadde omunwe gw’ennusu.
Government esazeewo nti egenda kusasulira buli kimu ekyetagiisa abaana basome, omuli school fees, ez’okukola ebigezo by’akamalirizo ebya UNEB, n’endala.
Abazadde kati basigazizza buvunanyizibwa bwakubagulira Uniform, ebitabo, pen, kalamu enkalu, wamu n`okubasibira emmere gyebagenda nayo ku ssomero.
Okutandika n’embalirira y`omwaka ogujja 2023-2024, government eyongedde ku nsimbi zebadde esaasanyiza ku baana abasomero mu masomero gaayo.
Buli mwana wa primary owa UPE government egenda kumusaasanyizaako emitwalo 151,711/= buli mwaka, ate term emu yakumusaasanyizaako 50,570/=.
Ate ku mutendera gwa secondary buli term, government buli mwana agenda kumusasulira emitwalo 341,603/= olwo omwaka gubere gwa mitwalo 994,825/=.
Ate mu mbaliriira y`omwaka 2024-2025, government eteekateeka okuzimba amasomero agali ku mutendera gwa primary aga UPE mu miruka 1,617, agasuubirwa okuwemmenta trillion 1.98, nga buli ssomero lyakuwemmenta akawumbi 1.22bn.
Mu mbeera yeemu government egenda kuzimbi amasomero agali ku mutendera gwa secondary, mu Ggombolola 350.
Mu nkyukakyuka ezireeteddwa government eyagala mu masomero gaayo buli musomesa abeere ng’asomesa abayizi 40 bokka.
Enkyukakyuka zino zanjuddwa minister Omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako Dr. Joyce Moriku Kaducu ku media centre mu Kampala , era nategeeza bannamawulire nti zasaliddwawo Olukiiko lwa baminister, nekigendererwa eky`okwongera okulongoosa enkola y’amasomero ga bonna basome n’okusitula omutindo gw’ebyenjigiriza.
Enteekateeka lya bonna basome yatandika mu January wa1997 mu primary, wabula emyaka bwegigenze zitambula agenze asereba era nekiwanuuzibwa nti abadde yafuuka bonna bakone.
Waliwo essuubi nti enkyukakyuka ezireeteddwa zakuyambako okutereeza ebyenjigiriza bya Uganda.
Bisakiddwa: Musisi John