Olukiiko olufuzi olw’eggye ly’e ggwanga erya UPDF luggyeyo abamu ku banamagye ababadde bawerereza ku ministry evunanyizibwa ku nsonga zomunda mu ggwanga, ne bazibwayo ku kitebe ky’amagye ekikulu e Mbuya.
Abagiddwa kwekuli abadde akulira ebyakugaba paasipoota (Director of Citizenship and Immigration Control era Commissioner, Brig.Johnson Namanya Abaho.
Kitegerekese nti bano baddiziddwa mu magye okutuusa webanawebwa obuvunanyizibwa obulala.
Bagenze okuggyibwa ku ministry y’ensonga zomunda mu ggwanga nga wakayita akaseera katono, ng’omudduumizi w’amagye ga UPDF Gen Muhoozi Kainerugaba yakawandika ku mutimbagano ogwa X, nategeeza nga bwagenda okuggya abajjaasi mu ministry eno, nti kubanga babadde bakaluubiriza abeyita abanyarwanda bannauganda, okufuna passport.
Kinajukirwa nti ne President Yoweri Kaguta Museveni aze awandiika ebbaluwa eziwerako ku nsonga eno, oluvanyuma lwa bannauganda abanyarwanda okumutwalira okwemulugunya , nti bammibwa passport sso nga mu mateeka bakkirizibwa okuzifuna.
Cbs mu kwogerako n’omwogezi wa ministry y’e nsonga zomunda mu ggwanga Simon Peter Mundeyi akakasizza nti abajjaasi abo bagiddwayo mu ministry.#












