Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezi eby’akamalirizo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board, (UNEB), kikkirizza abakulira amasomero n’abayizi abaatuula ebyakamalirizo ku mutendera gwa S.4 mu mwaka 2024 ne 2025, nebabigwa abaagala okuddamu okubituula mu mwaka guno 2026 okutandika okwewandiisa mu masomero.
UNEB egamba nti abayizi bano okuddamu okusoma omwaka guno 2026, balina okugoberera enkola empya eyatuumibwa Competency-Based Curriculum (CBC), naye nga baliko obukwakulizo bwebalina okusooka okugoberera.
Mu kiwandiiko ekifulumizddwa UNEB, ekiriko omukono gwa ssenkulu Dan Nockrach Odongo, kiraze nti nga 17 March,2026 , abakwatibwako ensonga baatula n’olukiiko olufuzi olwa UNEB nebakaanya ku bukwakulizo obulina okugobererwa mu kuwandiisa abayizi bano.
Abayizi aboogerwako bebaatula S.3 mu nkola eya Competence Based Curriculum, kyokka nebatayita kweyongerako mu S.4 kyokka nga kati baagala okwongerayo.
Dan Odongo agambye nti amasomero okuwandiisa abayizi bano, balina okusooka okugoberera amateeka, obukwakulizo nebiragiro ebyaweebwa UNEB mu kiwandiiko ekyafulumizddwa UNEB nga 26 ogwokubir 2026.
Mungeri yeemu abayizi abaagwira mu S.3, bakiriziddwa okuddamu okukola ekibuuzo ekya Project Work, era alizaatisi baziweeyo mu UNEB eddemu okubagezesa.
UNEB egamba nti abayizi abaagwa S.4, balina okuddamu okusoma ekibiina ekyo omwaka guno,era bagezesebwe essomero mwebasomedde.
Amasomero galina okusindika mu UNEB obubonero bwabwe bwebafunye mu kugezesebwa mu lusoma olusooka n’olwokubiri, nti kuba obubonero obwo bugattibwa ku bibuuzo ebyakamalirizo byebakola mu lusoma olwokusatu.
Abayizi abaagwa ku S4 era balagiddwa okuddamu okukola Project Work bamuweeyo mu UNEB agololwe buto, naddala eri abo abayitira mu Result Two.
UNEB era egambye nti abayizi tebakkirizibwa kukyusa masomo gebaali bakola, era ago gennyini gebalina okuddamu okukola.
Bisakiddwa: Ddungu Davis











