Ssaababalirizi w’ebitabo bya government Edward Akol, ayanjulidde parliament alipoota eyavudde mu kubalirira omuwendo gw’ensismbi government gwerina okusasula kampuni ya Umeme, okusigaza ebyuma byebadde ekozesa oluvanyuma lwa contract yaayo okugwako
Wabula ensimbi ssaababalirizi wa government zazudde ntono nnyo kweezo government zeyasaba parliament, era eziri mu lugendo lwokusasulwa kampuni ya Umeme.
Parlaiment yayisa obuwumbi 700 ziweeebwe kampuni ya Umeme nga zino zakwewolebwa okuva mu bank ya Stanbic, wabula zino zaayisibwa nga government ne parliament tewali amanyi muwendo mutuufu gulina okusasulwa kubanga okubalirira kwaali tekunakolebwa.
Ssababalirizi w’ebitabo bya government Edward Akol ayanjulidde sipiika wa parliament Anitah Annet Among alipoota eno, eyavudde mu kubalirira kalonda wa Umeme yenna, era nategeeza nti obukadde bwa ddoola za America 118 bwe buwumbi bwa Uganda 433 bwemulina okusasulwa Umeme, sso ssi obuwumbi 700 obwayisibwa.
Enjawulo eri wakati w’omutemwa governemnt zeyasaba obuwumbi bwa shs 700 neezo ssababalirizi w’ebitabo bya governmenr zaabaliridde okusasula okusinziira ku ku ye byababaliridde ya buwumbi 267.
Sipiika wa parliament Anita Annet Among bwabadde akwasibwa alipoota eno, alabudde nti ensimbi ssababalirizi w’ebitabo bya government zaabaliridde zezokka obuwumbi 433 , parliament zegenda okulagira government okusasula sso ssi buwumbi 700 zeyasaba.
Wabula kinnajjukirwa nti ensimbi obuwumbi 700 parliament yaziyisa dda era government eri mu nteekateeka okusasula ensimbi zino, oba okuba nga yazisasudde dda, olwensonga nti endagaano ya Umeme ne government eragira government okusasula ensimbi ezo obutasukka 31 omwezi guno ogwa March,2025.
Alipoota ya Ssaababalirizi bwevudde ewa sipiika Anita Among eyanjuddwa eri parliament eyawamu, ekubiriziddwa omumyuuka we Thomas Tayebwa.
Tayebwa naye awadde ekiragiro eri government okusasula ezo zokka ensimbi ezoogerwaako Ssaababalirizi webitabo bya government.
Tayebwa bwatyo abuuzizza parliament oba ng’ekkiriza alipoota eyisibwe nga bweri nga tesoose kuyisibwa mu bukiiko bwa parliament nga alipoota endala bwezikolebwa.
Omubaka wa munisipaali ye Kira Ibrahim Ssemujju Nganda akiwakanyizza, nategeeza nti ebadde tesobola kuyisibwa ng’obukiiko bwa parliament tebugikubyemu ttooki.
Wabula amyuuka sipiika Tomas Tayebwa alambise nti eno alipoota yanjawulo ku ndala, kubanga government erina okumaliriza ensonga za Umeme mu bwangu, era nti ababaka bonna bazimanyi.
Okusinziira ku ndagaano ya Umeme ne government ey’emyaka 20 egwako nga 31 March,2025, singa wabeerawo ensonga ezitwalibwa mu kooti nga government eruddewo okusasula oba ensonga zonna endala ezibalukawo ku ndagaano eno, ensonga zirina kuwozebwa mu kkooti ze Bulaaya sso ssi mu za Uganda.#