Olukiiko olutaba enzikiriza ezisuuta kristu olwa Uganda Joint Christian Council, (UJCC), luzeemu okuwanjagira government ya Uganda nabakwatibwako ensonga okulwanyisa ekizibu ky’enguzi ekisukiridde mu ggwanga, nekiviirako emirimu ejimu okutambula akasoobo.
Mu bubaka omusumba wa Kiyinda Mityana, Bishop Anthony Zziwa, era ssentebe woolukiiko olutaba enzikiriza ezisuuta kristo olwa Uganda Joint Christian Council, (UJCC), bwasomedde ku kisaawe kya Old Kampala ku mikolo egyokutambuza ekkubo ly’omusalaaba, agambye nti kikwasa ennaku okilaba abantu nga benyumiriza mu nguzi, sso ng’eyongera kuttattana ggwanga.
Mu kiwandiiko kyabwe ekyabagiddwa abakulembeze b’eddiinu mu Uganda Joint Christian Council, (UJCC), okuli ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The most Rev Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu, Ssabasumba wa ekeresiya yaaba Orthodox, Jeronymos Muzeeyi, naakisomye ssentebe woolukiiko lwaabepisikoopi mu ekereziya katolika, era omusumba wa Kiyinda- Mityana, Bishop Anthony Zziwa.
Era bavumiridde ebikolwa eby’okutyoboola obutonde ebisukiridde mu banna Uganda byagambye nti bikoseza obulamu nebyenfuna byeggwanga.
Basabye abakwatibwako ensonga okufuba okumalawo obukuubagano naddala ng’eggwanga lyetegekera okulonda kwa 2026, okutumbula obumu nokwewala okusosola abantu mu biti ebyenjawulo.
Mukusooka ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The Most Rev Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu, nga yaakulembeddemu okubuulira, asabye government okutwala eky’okulabiriko ekiri mu bayibula okukozesa olunaku luno okuyimbulirako abasibe abaakwatibwa naddala ku nsonga zeebyobufuzi, kibeere ekirabo eri eggwanga.
Omumyuka wa president Rtd Maj Jessica Alupo, aweze nti ensonga eno wakujitwala eri mukamaawe, president Yoweri Kaguta Tibuhaburwa, erowoozebweko.
Abakkiriza mu diini ezenjawulo baakedde okutambula okuva ku bitebe by’enzikiriza zaabwe, n’amasinzizo agenjawulo.
Mu kibuga ekikulu Kampala ewali ebitebe, abakulisitaayo bavudde ku kitebe kyobulabirizi bwe Kampala ekya All Saints e Nakasero, nga bakulembeddwamu Bishop Jackson Fredrick Baalwa ne kukitebe kye Namirembe, nga bakulembeddwamu Bishop Moses Banja.
Abavudde e Namirembe basoose ku ssomero lyabaana abatalina mwasirizi erisangibwa ku Balintuma, batuseeko ku ddwaliro e Mengo, ku Sanyu Babies Home, nebalyoka boolekera Ku kisaawe kya Old Kampala ewategekeddwa emikolo emikulu.
Abavudde e Nakasero bayitidde ku katale kewa Kisekka okutuuka ku kisaawe kya Old Kampala, naye nga bazze bayimirira buli masanganzira nga bwebabulira enjiri.
Abasodokisi bavudde ku kitebe kyabwe e Namungoona nga bakulembeddwamu Ssabasumba Muzeeyi Jeronymos, ate abakatuliki bakulembeddwamu ssabasumba Ssimogerere okuva e Lubaga nga bayitidde ku Lubaga Road, nebatuukako mu bifo byabakateyamba mu Kisenyi, nebalyooka boolekera Kampala mukadde.
Emikolo gino gyetabiddwako omumyuka wa president Rtd Maj Jessica Alupo, nga yaakiikiridde president, ba minister, ababaka ba parliament abakulembeze mu government ez’ebitundu, bannadiini nabantu baabulijjo abenjawulo.
Abagoberezi ba Yezu Kristu batamuzza ekkubo ly’omusaalaba munsi yonna, nga bajjukira olunaku lweyabonyaabonyezebwa ku mirembe gya Ponsio Piraato, n’akomererwa ku musaalaba ku lusozi e Gologooth.
Bisakiddwa: Ddungu Davis