Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere ey’abazannyi abatasussa myaka 17 eya Uganda Cubs, egenda okuzannya ne Somalia mu mpaka eza Africa Cup of Nations U17 Cecafa Zonal Qualifiers ku mutendera gwa semifinal.
Empaka zino ziyindira wano mu Uganda, era Uganda egenda kuzannya ne Somalia kussaawa 10 n’ekitundu ez’olweggulo mu kisaawe Nakivubo.
Wabula nga omupiira guno tegunatandika, wagenda kusokawo semifinal endala wakati wa South Sudan ng’ettunka ne Tanzania kussaawa 7 ez’emisana era mu kisaawe e Nakivubo.
Uganda Cubs okutuuka ku semifinal, yayiseewo nga ekulembedde ekibinja A era teyakubiddwamu mupiira gwonna.
Uganda Cubs yasooka kukola maliri ne Tanzania aga goolo 1-1, olwo n’eggalawo omutendera gw’ekibinja n’okukuba Kenya goolo 5-0.
Uganda Cubs etendekebwa Brian Ssenyondo.
Ekitundu kino ekya CECAFA kinoonya ttiimu 2 ezigenda okukiika mu mpaka za ezakamalirizo eza Africa Cup of Nations U17 ezinabeerawo omwaka ogujja 2025 e Morocco.
Somalia be bannantameggwa b’empaka ez’okusunsulamu ku mutendera gwa Cecafa, ate nga Senegal be bannantameggwa ku mutendera gwa Africa yonna.#
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe