Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes erinnye ebifo mukaaga munsengeka z’ensi yonna, amawanga nga bwegayimiridde mu kucanga omupiira ezifulumizidwa ekibiina ekiddukanya omupiira munsi yonna ekya FIFA.
Uganda Cranes kati mu kucanga endiba munsi yonna eri mu kifo kya 82, ng’esenvudde okuva mu kifo kye 88 kyebaddemu okuva munsengeka ezafulumizibwa mu mwezi gwa July 2025.
Okulinnya kwa Uganda Cranes kuvudde ku mutindo gwe yayoleseza mu mpaka za FIFA World Cup Qualifiers, mweyakubidde Mozambique goolo 4-0 ate n’ekuba ne Somalia goolo 2-0, ng’emipiira gyonna gyazanyibwa Namboole.
Uganda Cranes era yatuuse ku mutendera gwa quaterfinal mu mpaka za CHAN ezategekebwa Uganda, Kenya ne Tanzania, nga Uganda yava mu kibinja omulundi gwayo ogwasookera ddala.
Morocco esigadde yekulembedde ku ssemazinga Africa ate nga munsi yonna ya 11, Senegal yakubiri ate munsi yonna ya 18, Misiri yakusatu ate munsi yonna ya 35, Algeria yakuuna ate munsi yonna ya 38, Ivory Coast yakutaano ate munsi yonna ya 44, Nigeria ya 6, Tunisia ya 7, Cameroon ya 8, South Africa ya 9 ate Mali ya 10, olwo Uganda ya 17.
Munsi yonna Spain yesinga okucanga endiba, France yakubiri z Argentina yakusatu, Bungereza yakuuna, Portugal yakutaano, Brazil ya 6, Budaaki ya 7, Belgium ya 8, Croatia ya 9 ate nga Italy ya 10.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












