Ekitongole ekivunaanyizibwa ku byempuliziganya mu ggwanga ki Uganda Communications Commission (UCC) kitaddewo nsalesale owa nga 30 June, 2024 eri buli muntu yenna alina ekibanja kye ku mikutu emigatta bantu, ne ku mutimbagano okwewandiisa baweebwe licence.
Enteekateeka eno etandikidde ku mikutu egiggulibwawo ku mitimbagano negitandika okuwa abantu amawulire n’okufunamu ensimbi (online data Communications services), bannyinigyo bateekeddwa okwewandiisa mu butongole era nebaweebwa Licence okuva mu UCC ezibakkiriza okukola omulimu ogwo.
Abasookerwako abewandiisa bakusasula shs 100,000/=, era licence ezo zaakuzzibwanga buggya buli mwaka.
Muno mulimu abaatandikawo radio ku mitimbagano, empapula z’emawulire, Bloggers, podcasters, abalina Live talkshows ku bibanja byabwe n’abalala.
Abatandikawo TV ku mitimbagano nabo balina ensimbi ezenjawulo zebateekeddwa okusasula ku bintu TV eyo byebeera egenda okukola.
Ssenkulu w’ekitongole ki Uganda Communications Commission Nyombi Ttembo, abadde aggulawo omusomo gw’abakolera amawulire ku migimbagano abavudde mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo, olutudde ku office za UCC e Bugoloobi, agambye nti bakussa amaanyi mangi mu kusomesa n’okulambika abantu enkozesa y’emitimbagano esaanidde, okwewala embeera eyinza okusuula eggwanga mu katyabaga.
Nnyombi Tembo agamba nti bafunye okwemulugunya kungi ng’ekitongole, olw’enkola y’emikutu egiri ku mutimbagano ebadde eya kyetwala, nga buli muntu byasaanga byasaayo.
Munnamateeka wa UCC Dr.Abdu Salaam Waiswa anokoddeyo akawaayiro 1 ennyingo eye 27 mu tteeka ly’ebyempuliziganya erya Uganda Communications Act 2013, akalambika nti omuntu yenna atuusa amawulire oba obubaka bwonna eri abantu abangi ng’akozesa ebifaananyi, video, amaloboozi n’ebirala abeera ateekeddwa okwewandiisa n’amanyibwa ekitongole kya Uganda Communications Commission.
Annyonyodde nti omuntu yenna asalawo okuggulawo omukutu ogutambuza amawulire, ateekeddwa okugoberera amateeka gonna agafuga bannamawulire.
Mulimu etteeka erya Press and Journalists Act erya 1995, Access to Information Act 2005, Computer Misuse Act 2011, Uganda Communications Act 2013, n’amalala.
Waiswa agambye nti singa olwa 30 June,2024 lunaayitako nga nnyini kibanja oba mukutu oguweereza amawulire ku mutimbagani nga tegwewandiisizza, omukutu ogwo gujjakuba gumenya mateeka.#












