Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza Ttabamiruka wa Buganda Bumu mu bukiika ddyo bwa Africa, wamu n’okutuuza abaami ba Kabaka mu bitundu ebyo.
Ttabamiruka ono ayindidde mu Lagoon Beach hotel mu kibuga Cape Town mu South Africa, n’ekigendererwa eky’okwongera okugatta abantu ba Kabaka abali mu bitundu ebyo, n’okubazzaamu essuubi.
Abaami ba Kabaka abatuuziddwa kuliko Owek. Denis Lugoloobi owa Western Cape ne Owek. Dr. Sam Ssemugabi Bakyayita atwala Johannesburg.
Katikkiro abakubirizza okukulembeza obuwangwa n’ennono mu byebakola yonna gyebawaangalira, wadde nga bali ku mawanga.
Mu ngeri yeemu basabiddwa okwegendereza abakozesa emitimbagano nebasasaanya amawulire amakyaamu eri Obwakabaka , nebasabwa bakozese emikutu gy’Obwakabaka egyesigika, era bamanye emirimu Ssaabasajja gyalagira abantube okukola beggye mu bwavu, nga bayita mu nteekateeka z’Obwakabaka.
Minister wa government ez’ebitundu era avunaanyizibwa ku bantu ba Kabaka abali ebweru wa Buganda Owek Joseph Kawuki, agambye nti abalwaanyisa Buganda basaanye bajjukire ebyafaayo byayo eri eggwanga Uganda, olwo enkulaakulana eggumire.
Omwami wa Ssaabasajja akulembera essaza lya Western Cape Denis Lugoloobi yeeyamye okukulembera abantu ba Kabaka mu bwenkanya, nga abakulemberera mu bibiina byonna ebibagatta.
Omubaka wa Uganda mu Western Cape Kintu Nyago yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’okunyweza enkolagana n’Amawanga amalala, n’okulowooza ku bantu baabwo yonna gyebaba. #