Ekibiina kya bannakatemba ekya The Ebonies kyanjudde enteekateeka z’okujaguza emyaka 47 mu nsiike y’okusanyusa banna Uganda nga bayita mu mizannyo n’ennyimba.
Omu ku bakulira The Ebonies Sam Bagenda amayiddwa nga Dr. Bbosa agambye nti ekijaguzo kyakubaawo nga 20 December,2024 ku Serena Hotel mu Kampala.
Nnaabagereka Sylvia Nagginda y’asuubirwa okubeera omugenyi omukulu.