Ekivvulu ky’ennyimba ekya Tendo Worship Concert ekyategekeddwa aba Heart Health Foundation ku Hotel Africana mu Kampala.
Kigendererwamu okusonda ensimbi ez’okudduukirira abaana abazaalibwa nga balina endwadde z’emitima.
Kyetabiddwamu Choir okuva mu nzikiriza ez’enjawulo.

Nnaalinya Dorothy Nassolo akalaatidde abantu okukwasizaako kaweefube w’ekitongole kino okutaasa obulamu.

Omukolo gwetabyeeko omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro wa Buganda Owek.Waggwa Nsibirwa, sipiika w’olukiiko lwa Buganda Owek.Patrick Luwaga Mugumbule, Minister w’eby’enjigiriza, eby’obulamu ne wofiisi ya Nnaabagereka Owek.Cotilda Nakate Kikomeko n’abakulu abalala bangi.#