Minister w’eby’obulimi mu Buganda Owek Hajj Aminsi Kakomo Mukasa awadde amagezi eri abakyalina ettaka obutalitunda nti wakiri balipangise abalala bongere okulimirako emmere nebirime eby’ettunzi okulwanyisa obwavu.
Minister Kakomo asinzidde ku mudaala gwa bazzukulu ba Buganda abawangaalira e Busoga kwebolesezza byebakola, ku mwoleso gw’ebyobulimi n’obusuubuzi ogugenda mumaaso ku show ground e Jinja.
Agambye nti kati ensi zonna mu Africa obwanga buzoolesezza byabulimi ng’eky’okulwanyisa ekisinga, n’agamba nti kikwasa ennaku ensi z’abazungu ezitalina ttaka ddungi n’embeera y’obudde embi, okuba ate nga buli kaseera gegadduukirira amawanga ga Africa nga galumbiddwa enjala.
Agamba nti ne sente govovernment eyawakati zeebawa munteekatekka ya Parish Development Model bazeyambise okugaziya ebyobulimi n’obulunzi .
Omwoleso guno ogw’eby’obulimi gutadde essira kukwagazisa abantu okulima ebimera ebikula amangu, nga bakozesa technology omwangu okwongera ku bungi bw’emmere okulwanyisa enjala n’obwavu.
Minista Mukasa Kakomo ayaniriziddwa omubaka wa Ssabasajja atwala e Ssaza lya Busoga Owek Nakiyingi Jane .
Bisakiddwa: Kirabira Fred