Essaza ly’Eklezia Katulika ery’e Masaka likuzizza olunaku lw’essaza.
Missa ekulembeddwa omwepisikoopi w’essaza lino Bishop Serverus Jjumba mu kibangirizi ekimanyiddwa nga Kitovu sports Alena.
Mu Misa eno abristu banjuliddwa omubala kwebagenda okutambulira omwaka guno
“Okwagalana mu maka: Kuyitibwa era kkubo eritutuusa mu butuukirivu”
Kwetabiddwako bannabyabufuzi nga bakulembeddwa president wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, akulira oludda oluvuganya government Owek.Mathias Mpuuga Nsamba, eyaliko omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi ne bannabyabufuzi abalala bangi.
Wabula emikolo gibadde gikyagenda mu maaso poliisi n’ezingako ekifo kyonna era ekozesezza omukka ogubalagala okugumbulula abantu ababadde bakungaanidde ebweru w’ekibangirizi emikolo wegibadde.
Oluvannyuma Poliisi evuddewo era emikolo negigenda mu maaso.
Kyagulanyi Ssentamu oluvudde wano ayolekedde butereevu ku kigo e Bisanje okusisinkanamu Rev. Fr. Mugisha Richard eyali yaggulwako omusango gw’okutta omuntu oluvannyuma negumuggibwako.
Ono era akyaliddeko ne jjajaawe e Matanga , wavudde nayolekera olw’e Kampala.