Akabenje kagudde ku bitaala byoku ssaawa ya Queen mu Kampala wakati, emmotoka ya taxi ebadde efubutuka mu bitundu bye Nsambya egaanye okusiba n’esaabala aba bodaboda ababadde balinze ebitaala okubata.
Taxi eno esaabadde bodaboda 3 ezibaddeko abasabaze era owa Bodaboda omu afiiriddewo ate abalala baddusidwa mu mwalaliro nga bali mu mbeera mbi.
Aberabiddeko bagamba nti Taxi eno ebadde edduka ng’eyagala kusala bitaala nga tebinakwata, agenze okutuuka nga bikutte kyokka negaana okusiba nesaabala ababaddewo.
Police eddusizza abakoseddwa mu malwaliro, n’omulambo negutwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago.#







